Zheea, once again (Birgi Beats)
Genius Omuzira
King Jemcee
Whoooo
Bw'oba tokyali muto nga weekakasa nti wakula
Nga nkulabikira nga omubisi gw'enjuki awo wakula
Bye nnyimba biwoomera amatu go n'otabyatula?
Gwe oba wa mpisa mbi n'omulangira omulangira
Ba rapper bakungiriza nze mbu ekirenzi kyajja
Tebaasooka kumanya nti kiwanda muliro nga charger
Ndi nnyanja ya goonya bwe baalaba nteese ne babbira
Tebaamanya nti wansi zaali mu nga nazo zifa njala
Ankira ko mu rap nga avuga akagaali yabula
Ndi tank ku kalina abalala bingaangaali ku nsiisira
Flow zabwe NEMA nga ekitongole kya National Environment, Managing Authority nze ngirina kw'eno beat
Nkola biri special nze njawula mu nzigotta
Mbakubira wordplay eyo ne beebuuza bwe nzigatta
Obwongo bwesera Genius ndi magezi gatta
Yadde ssirina degrees nnyingi nga thermometer
Greatest lyricism gye nina eno togyebuuza
Literature wa Shake Spears nze namusigaza
Rap kapiira nkakasuka abakalaba ne bakabaka ababaka abakalabakalaba bokka be bakabaka ne ba Kabaka
Abansoomooza luri nga ssinasamba kijji
Nafuuka njuba mu bbanga bo ate njuba ya ggi
Nga billionaire menyeka na bikutiya bya ssente
Bo skin z'engagga baalwala bisente
Nze landlord wa rap nsolooza ate buli kazigo
Ssipangisa ba malibu nkolagana na ba kazigo
Hip Hop namwemetta ku mubiri nga ekizigo
Kati ekintu kindi mu ttaano nga ensolo ku kizigo
Be nasoma nabo mu class ne mbaazika rubber
Gye bali nafuuka enemy banjagaliza na kalabba
Nze bw'onteeka ko empiiga nkumala mu akababba
Nsiiwa ntumbwe nga kamyu ne nkusala bufi nga kamyu
Ba rapper mbasuza batunula nga DJ ku mixer
Emisana ne baleekaana mbu ettutumu ndijje ku mikisa
Baatusibira mu cage kati ate ffe tufuga jungle
Baatusuubira kuyonsa bumyu kati tuliisa myana gya ngo
Hip Hop kkufulu nze navaayo nga master key
Mbe kitangaala mw'ayakira era kati muleke nneememule
Ndi lyrically magical bars nkuba ziri logical
Ne bw'oba philosopher zikuleeta bad memory
Mw'eno beat nflowinga nga omugga Mississippi
Champion mu ring buli kadde mpanika bisipi
Training we twakolera bo nga batema bisiki
Be aware of Jemcee bw'ontambaala eba risk
Genius Omuzira kati nfuba kuzimba legacy
Ssikulembeza ssente nfa ku linnya lyange ligase
Mu rap zange tobuuza kagambo punchline
Keeyogerera kokka bw'oba omanyi aka detection
King Jemcee J.E.M.C.E.E
Nakenkuka rhyme ate nazitandikira mu P.E
Mentality yange eri waggulu nga enju ya konkona miti
Bw'oba tokiraba weesulise nga ekinyira ku bbuliti
Ndi njovu mu jungle omutwe gwange mugagga
Naggagga wa rhyme flow mpandula nga busagwa
Ne bwe nfuna antintimya olutiko mmera maggwa
Kitegeeza ngenda mpola bw'ompalampa ogwa
Handsome guy attractive nga Mona Lisa
Hip Hop nkoleezezza omumuli kati mmulisa
Kazibe ssente tezinkola lubuto nga sex
Ever mba sobber ssikozesa muti nga Zex
Mu rap nze ssengule bali engule zabwe ngule
Akaalo Hip Hop nkalumbye nga grader nsengule
Bwe nkuba rap blood togiyita mmandule
Mpita buyisi buli awali battle ekijji mmandule
Ke nva wano ngende neesalire yo empanga
Career gye nkola nnungi akasente empa nga
Yadde embeera tennanta nnyo naye ekirungi mpanga
Bw'ewanguka tennyinyula ssipowa omuyini mpanga
Tukuba rap bali mu kadongo kamu Mpanga
Mbalinnya ku migongo nga buseera nze mpanga
Mukama Katonda wange buli kye nkusaba mpa nga
Omponye abataaguzi abo ba kakuba mpanga
F*ck off fake MC, what a pitty?
Eno mic nkutte ku kukuba ma rap nkutte
Battle me in rap and I bang you as a bell
Fire me I'll send you automatically to hell
Mu Hip Hop ndi virtuoso byonna bye nkola bya kikugu
Ntuukiriza buli basic ssikola bya kikuggu
Ba kataala ka nkoleeze obuguloopu ka mbwase
Baligenda n'okuzibuka abamu amaaso nga mbwase
[Thanks to geniusomuzira for adding these lyrics]